[go: up one dir, main page]

Jump to content

Mowzey Radio

Bisangiddwa ku Wikipedia
Mowzey Radio
Amanya: Moses Nakintije Ssekibogoh
Yazaalibwa Nga: 25 Ogusooka 1985
Yafa Nga : 1 Ogwokubiri 2018

Yazaliwa jinja,musoga

[kyusa | edit source]

Moses Nakintije Ssekibogo (25 Gatonya 1985[1][2] – 1 February 2018), amanyidwa nnyo nga Mowzey Radio, oba oluusi yayitibwa Moses Radio, yali muyimbi munayuganda. Ye awamu ne muto wa Jose Chameleone amanyidwa nga Weasel Manizo (amanya amatuufu Douglas Sseguya), bebaali abasanyusa abenkizo mu kibiina kya Goodlyfe. 

Career

[kyusa | edit source]

Radio yafulumya oluyimba lwe olusooka lweyatuuma "Tujja Kuba Wamu" mu 2004 bwe yali akyaali muyizi e Makerere University gye yatikirwa diguli mu psychology. Mu 2005 yegatta ku Leone Island Music Empire. Yatandika nga omuyimbi wa backup ya Jose Chameleone.[3] Backup yagiyimba ne Weasel. Mu mwaka gwegumu 2005 yasobola okufulumya oluyimba lwa reggae lweyatuuma "Jennifer". Akatambi ka video ka oluyimba luno kakolebwa munayuganda promoter DJ Erycom.

Mu 2006, Mowzey Radio yafulumya aluyimba olulala lweyatuuma "Sweet Lady", olwayagalwa nnyo banayunganda nelumusobozesa okwongera okumanyibwa. Mu gw'ekumi 2007, Mowzey Radio, Weasel ne Jose Chameleone batambula mu United States ne Caribbean. Naye bwebadirayo eka, Radio ne Weasel bali bafunye obutakaanya ne Chameleone. Era oluvanyuma lw'enkayana wakati w'ababiri bano ne Chameleone, baava mu kibiina kye ne batandikawo Goodlyfe Crew. Goodlyfe Crew yafuuka ya ttutumu. Yafulumya akayimba akasooka akayitibwa "Nakutadata", ne kudako "Ngamba" n'obulala bungi.[4] Goodlyfe Crew yayimbirawamu n'abayimbi bangi okwali Rabadaba mu luyimba "Ability",[5] olwafulumizibwa producer Just Jose.

Mowzey Radio yakolagana nabayimbi bangi aba Uganda ne ensi z'ebweru era nawangula awaadi nyingi and mwemwali ne BET nominations.

Radio ne Weasel bayimba enyiba nyingi nga: "Ability", "Akapapula", "Bread and Butter", "Hellenah" ft David Lutalo, "Juice Juicy", "Lwaki Onnumya", "Magnetic", "Mr DJ", "Mukama Talya Mandazi", "Ngenda Maaso", "Nyambula", "Nyumbani", "Obudde", "Potential", "Sitaani", "Zuena", ne "(Tukikole) Neera", olwakyaaka enyo ku maleedio ne terefayina mu Africa mu mwaka gwa 2014.Template:Citation needed

Ebirala Ku Bulamu Bwe N'Okufa

[kyusa | edit source]

Radio yafa nga 1 Ogwokubiri 2018 ku Case Clinic e Kampala, Uganda,[6] oluvanyuma lw'omusaayi okutonya ku bwongo.[7] Ennaku ntonoko emabega, Radio yafuna obuzibu ku bwongo oluvanyuma lwokufuna obutakaanya ne Maneja w'ebbaala lya Da Bar e Entebbe ekyavirako kanyama omu omukuba wansi nalumizibwa bubi nyo. Nya 21 ogusooka, Radio yayiira abantu mu bbaala omwenge gwa Black Label maneja, ayitibwa Egesa, gweyamugulira. Egesa yamulagira afulume, naye olwerema nalagira bakanyama okumufulumya ku kifuba. Yaziikibwa e Nakawuka mu Wakiso District.

References

[kyusa | edit source]
  1. "Mowzey Radio at 33: From Backup singer to Uganda's Biggest Voice – chimplyf". Archived from the original on 2 February 2018. Retrieved 2 February 2018.
  2. "Born On 1st January, Died On 1st February, 10 Facts You Should Know About The Fallen Ugandan Music Star Mowzey Radio". 1 February 2018. Retrieved 2 February 2018.
  3. back up singers, radio. "Why Chameleone falls out with his back-up singers". New vision. Retrieved 1 May 2014.
  4. good lyfe, best group. "goodlyfe-eye-world-s-best-group-award". Archived from the original on 2 May 2014. Retrieved 1 May 2014.
  5. eMinor. "ABILITY by RADIO & WEASEL ft. RABADABA | JUST JOSE Productions". ReverbNation (in American English). Archived from the original on 2020-10-21. Retrieved 2017-11-23.
  6. "Ugandan musician Mowzey Radio dies". www.newvision.co.ug. Retrieved 2018-02-01.
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-02-05. Retrieved 2018-02-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)